1 Bano be baali batabani ba Isirayiri:
2 ne Ddaani, ne Yusufu, ne Benyamini, ne Nafutaali, ne Gaadi ne Aseri.
3 Batabani ba Yuda baali
4 Tamali muka mwana wa Yuda, n’azaalira Yuda Pereezi, ne Zeera.
5 Batabani ba Perezi baali
6 Batabani ba Zeera baali
7 Mutabani wa Kalumi ye yali
8 Mutabani wa Esani ye yali
9 Batabani ba Kezulooni baali
10 Laamu n’azaala Amminadaabu,
11 Nakusoni n’azaala Saluma,
12 Bowaazi ye n’azaala Obedi ate Obedi n’azaala Yese.
13 Yese n’azaala
14 Nesaneeri nga ye wookuna,
15 Ozemu n’aba ow’omukaaga,
16 Bannyinaabwe be baali Zeruyiya ne Abbigayiri.
17 Abbigayiri yali nnyina wa Amasa, ne Amasa n’azaala Yeseri Omuyisimayiri.
18 Kalebu mutabani wa Kezulooni n’azaala abaana mu Azuba mukyala we ate era ne mu Yeriyoosi.
19 Azuba bwe yafa, Kalebu n’awasa Efulaasi, eyamuzaalira Kuuli.
20 Kuuli n’azaala Uli, Uli n’azaala Bezaleeri.
21 Oluvannyuma Kezulooni, ne yeebaka ne muwala wa Makiri kitaawe wa Gireyaadi, gwe yali afumbiddwa nga wa myaka nkaaga, n’amuzaalira Segubu.
22 Segubu n’azaala Yayiri, eyafuganga ebibuga amakumi abiri mu bisatu mu nsi ye Gireyaadi.
23 Naye Gesuli ne Alamu ne bawamba ebibuga bya Yayiri, Kenasi n’ebyalo byayo, byonna awamu byali ebibuga nkaaga.
24 Kezulooni ng’amaze okufa, Kalebu ne yeebaka ne maama we omuto Efulaasi eyali mukyala wa kitaawe, n’amuzaalira Asukuli, n’azaala Tekowa.
25 Yerumeeri mutabani wa Kezulooni omukulu yalina batabani be bataano nga be ba
26 Wabula Yerumeeri yalina omukyala omulala ng’erinnya lye ye Atala, era oyo yali nnyina Onamu.
27 Batabani ba Laamu mutabani omukulu owa Yerameeri baali
28 Batabani ba Onamu be baali
29 Abisuli yalina omukyala erinnya lye Abikayiri, era n’amuzaalira Abani ne Molidi.
30 Batabani ba Nadabu be baali
31 Mutabani wa Appayimu yali
32 Batabani ba Yada muganda we Sammayi be baali
33 Batabani ba Yonasaani be baali
34 Sesani ye yalina baana ba buwala bokka,
35 Sesani n’awaayo omu ku bawala be okufuumbirwa omuddu we Yala, era omuwala n’azaala Attayi.
36 Attayi n’azaala Nasani,
37 Zabadi n’azaala Efulali,
38 Obedi n’azaala Yeeku,
39 Azaliya n’azaala Kerezi,
40 Ereyaasa n’azaala Sisumaayi,
41 Sallumu n’azaala Yekamiya,
42 Omwana omukulu owa Kalebu muganda wa Yerameeri,
43 Batabani ba Kebbulooni baali
44 Sema n’azaala Lakamu,
45 Mutabani wa Sammayi n’azaala Manoni,
46 Efa omukazi omulala owa Kalebu yamuzaalira
47 Batabani ba Yadayi baali
48 Ate era Kalebu yalina omukazi omulala, Maaka eyamuzaalira
49 Mukazi we oyo yazaalayo n’omwana omulala erinnya lye Saafu, eyazaala Madumanna.
50 Abo be baali bazzukulu ba Kalebu.
51 Saluma n’azaala Besirekemu, ne Kalefu n’azaala Besugaderi.
52 Sabali eyazaala Kiriyasuyalimu, yalina abaana abalala nga be ba
53 n’ebika ebya Kiriyasuyalimu nga be ba Abayisuli, n’Abapusi, n’Abasumasi, n’Abamisulayi. Muno mwe mwasibuka Abazolasi n’Abayesutawooli.
54 Batabani ba Saluma baali
55 n’ebika by’abawandiisi b’amateeka abaabeeranga e Yabezi, nga be b’Abatirasi, Abasimeyasi, n’Abasukasi. Bano be Bakeeni abasibuka mu Kammasi, era be baavaamu oluggya lwa Lekabu.