1 Ayi Mukama, ggwe Katonda awalana eggwanga,
2 Golokoka, Ayi ggwe Omulamuzi w’ensi,
3 Ayi Mukama, omukozi w’ebibi alikomya ddi?
4 Bafukumula ebigambo eby’okwewaanawaana;
5 Babetenta abantu bo, Ayi Mukama,
6 Batta nnamwandu n’omutambuze;
7 Ne boogera nti, “Katonda talaba;
8 Mwerinde mmwe abantu abatategeera.
9 Oyo eyatonda okutu tawulira?
10 Oyo akangavvula amawanga, taakubonereze?
11 Mukama amanyi ebirowoozo by’abantu;
12 Ayi Mukama, alina omukisa oyo gw’ogunjula,
13 omuwummuzaako mu kabi kaalimu,
14 Kubanga Mukama talireka bantu be;
15 Aliramula mu butuukirivu,
16 Ani alinnwanyisizaako abakola ebibi?
17 Singa Mukama teyali mubeezi wange,
18 Bwe naleekaana nti, “Nseerera!”
19 Ebyeraliikiriza omutima gwange bwe byayitirira obungi,
20 Oyinza okukolagana n’obufuzi obukyamu,
21 Abakola ebibi beegatta ne balumbagana abatuukirivu;
22 Naye Mukama afuuse ekiddukiro kyange eky’amaanyi;
23 Mukama alibabonereza olw’ebibi byabwe,