1 Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka;
2 Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange;
3 Mulituusa ddi nga mulumba omuntu,
4 Bateesa okumuggya
5 Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka;
6 Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange,
7 Okulokolebwa kwange n’ekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka;
8 Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu,
9 Abaana b’abantu mukka bukka,
10 Temwesigamanga ku bujoozi
11 Katonda ayogedde ekintu kimu,
12 era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala.