1 Ayi Katonda wange, mponya abalabe bange;
2 Omponye abakola ebitali bya butuukirivu,
3 Laba banneekwekeredde nga banteega okunzita.
4 Sirina kye nsobezza, naye bateekateeka okunnumba.
5 Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri,
6 Bakomawo buli kiro,
7 Laba, bwe bavuma!
8 Naye ggwe, Ayi Mukama, obasekerera,
9 Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakwesiganga
10 Katonda wange anjagala
11 Tobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe,
12 Amalala gaabwe n’ebyonoono ebiva mu kamwa kaabwe,
13 Bamaleewo n’ekiruyi kyo,
14 Bakomawo nga buwungedde
15 Banoonya emmere buli wantu mu kibuga,
16 Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go;
17 Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza;