1 Eri ggwe, Ayi Mukama,
2 Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
3 Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
4 Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
5 Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
6 Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
7 Tojjukira bibi byange
8 Mukama mulungi, era wa mazima,
9 Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu
10 Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima
11 Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama,
12 Omuntu wa ngeri ki atya Katonda?
13 Obulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda,
14 Mikwano gya Mukama be bo abamugondera;
15 Ntunuulira Mukama buli kiseera,
16 Nkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa,
17 Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange;
18 Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange;
19 Laba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi
20 Labiriranga obulamu bwange, obamponye;
21 Amazima n’obulongoofu bindabirirenga,
22 Nunula Isirayiri, Ayi Katonda,