1 Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go.
2 Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga,
3 Ddala ddala wamwaniriza n’emikisa gyo egijjudde ebirungi,
4 Yakusaba obulamu, era n’obumuwa,
5 Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene.
6 Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera,
7 Kubanga kabaka yeesiga Mukama,
8 Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna;
9 Bw’olirabika, Ayi Mukama,
10 Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi,
11 Newaakubadde nga bakusalira enkwe,
12 Balikyuka ne bakudduka bwe baliraba
13 Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go.