1 Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
2 Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
3 Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
4 Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
5 Ondi mu maaso n’emabega,
6 Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
7 Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali?
8 Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli;
9 Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala
10 era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,
11 Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire,
12 Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza,
13 Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
14 Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
15 Wammanya nga ntondebwa,
16 Wandaba nga si natondebwa.
17 By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!
18 Singa ngezaako okubibala
19 Abakola ebibi batte, Ayi Katonda;
20 Abantu abo bakwogerako bibi;
21 Abakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa;
22 Mbakyayira ddala nnyo,
23 Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.
24 Olabe obanga mu nze mulimu engeri yonna enkyamu;