Números 26

LUG

1 Awo oluvannyuma lwa kawumpuli, Mukama Katonda n’agamba Musa ne Eriyazaali, mutabani wa Alooni, kabona, nti,

2 “Bala omuwendo gw’abantu bonna abali mu kibiina ky’abaana ba Isirayiri, ng’obabala mu bika byabwe ne mu mayumba ga bakadde baabwe. Bala abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo abakyasobola okutabaala mu ggye lya Isirayiri.”

3 Bwe batyo, nga bali mu nsenyi za Mowaabu, ku ludda lw’omugga Yoludaani okwolekera Yeriko, Musa ne Eriyazaali kabona, ne boogera ne bagamba abantu nti,

4 “Mubale abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n’okusingawo, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.”

5 Ab’omu kika kya Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano:

6 abaava mu Kezulooni, lwe lunyiriri lw’Abakezulooni;

7 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Lewubeeni. Abo abaabalibwa baawera emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu amakumi asatu (43,730).

8 Mutabani wa Palu yali Eriyaabu,

9 ne batabani ba Eriyaabu baali, Nemweri ne Dasani ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu be bo abaali abakulembeze mu kibiina abaajeemera Musa ne Alooni era baali mu kabondo k’abagoberezi ba Koola abaajeemera Mukama Katonda.

10 Ensi yayasamya akamwa kaayo n’ebamira, ne bafiira wamu ne Koola; n’abagoberezi ba Koola ebikumi bibiri mu ataano nabo baazikirizibwa mu muliro ogwabasaanyaawo. Ne babeera kabonero ka kulabirako akanaalabulanga abantu.

11 Kyokka olunyiriri lwa Koola terwazikiririra ddala lwonna.

12 Ab’omu kika kya Simyoni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

13 abaava mu Zeera, lwe lunyiriri lw’Abazeera;

14 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Simyoni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (22,200).

15 Ab’omu kika kya Gaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

16 abaava mu Ozeni, lwe lunyiriri lw’Abaozeni;

17 abaava mu Alodi, lwe lunyiriri lw’Abaalodi;

18 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Gaadi. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).

19 Eri ne Onani baali batabani ba Yuda, naye ne bafiira mu nsi ya Kanani.

20 Ab’omu kika kya Yuda ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

21 Bazzukulu ba Pereezi be bano:

22 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Yuda. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo musanvu mu kakaaga mu ebikumi bitaano (76,500).

23 Ab’omu kika kya Isakaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

24 abaava mu Yasubu, lwe lunyiriri lw’Abayasubu;

25 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Isakaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bisatu (64,300).

26 Ab’omu kika kya Zebbulooni ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

27 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Zebbulooni. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu ebikumi bitaano (60,500).

28 Ab’omu kika kya Yusufu nga bayita mu bika bya batabani be Manase ne Efulayimu.

29 Ab’omu kika kya Manase ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

30 Ab’omu kika kya Gireyaadi ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

31 abaava mu Asuliyeri, lwe lunyiriri lw’Abasuliyeri,

32 abaava mu Semida, lwe lunyiriri lw’Abasemida;

33 Zerofekadi teyazaala baana balenzi, yalina bawala bokka, amannya gaabwe ge gano: Maala, ne Noowa ne Kogula ne Mirika ne Tiruza.

34 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Manase; abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700).

35 Ab’omu kika kya Efulayimu ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

36 Bano be bazzukulu ba Susera:

37 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Efulayimu; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bitaano (32,500).

38 Ab’omu kika kya Benyamini ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali, be bano:

39 abaava mu Sufamu, lwe lunyiriri lw’Abasufamu;

40 Abazzukulu ba Bera nga bava mu Aluda ne Naamani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

41 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Benyamini; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga (45,600).

42 Ab’omu kika kya Ddaani ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

43 Zonna zaali nnyiriri za Basukamu. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu ebikumi bina (64,400).

44 Ab’omu kika kya Aseri ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

45 Ate okuva mu bazzukulu ba Beriya, ze zino:

46 Aseri yalina omwana omuwala erinnya lye nga ye Seera.

47 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Aseri; n’abaabalibwa baawera abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).

48 Ab’omu kika kya Nafutaali ng’ennyiriri zaabwe bwe zaali be bano:

49 abaava mu Yezeri, lwe lunyiriri lw’Abayezeeri;

50 Ezo ze nnyiriri z’ekika kya Nafutaali. Abaabalibwa baawera abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (45,400).

51 Okugatta awamu omuwendo gwonna ogw’abaana ba Isirayiri abasajja abaabalibwa baawera emitwalo nkaaga mu lukumi mu lusanvu mu amakumi asatu (601,730).

52 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti,

53 “Ensi ejja kubagabanyizibwamu okubeera obutaka bwabwe ng’obungi bw’amannya gaabwe bwe buli.

54 Ekibiina ekinene kinaafuna wanene, n’ekibiina ekitono kinaafuna watono. Buli kibiina kinaafuna obunene nga obungi bw’amannya agali ku lukalala bwe genkana obungi.

55 Weegendereze okukakasa ng’ensi egabanyizibbwa mu bwenkanya. Ekika, ekitundu kye kinaafuna kineesigama ku bungi bw’amannya ga bajjajja b’ekika ekyo.

56 Ebitundu ebinene binaagabanyizibwa ku kalulu, era n’ebitundu ebitono nabyo bwe bityo.”

57 Bano be Baleevi abaabalibwa ng’enyiriri zaabwe bwe zaali:

58 Ne zino nazo nnyiriri za Baleevi:

59 Erinnya lya muka Amulaamu ye yali Yokebedi muwala wa Leevi, Leevi gwe yazaalira mu Misiri. N’azaalira Amulaamu bano: Alooni, ne Musa ne mwannyinaabwe Miryamu.

60 Alooni ye yali kitaawe wa bano: Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.

61 Kyokka Nadabu ne Abiku ne bafa bwe baakuma omuliro ogutali mutukuvu mu maaso ga Mukama.

62 Abasajja bonna okuva ku mwezi ogumu ogw’obukulu n’okusingawo, abaabalibwa, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Tebaabalirwa wamu na baana ba Isirayiri nga babalibwa, kubanga Abaleevi bo tebaaweebwa mugabo gwa butaka ng’abaana ba Isirayiri bagabana.

63 Abo be baabalibwa Musa ne Eriyazaali kabona lwe baabala abaana ba Isirayiri mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.

64 Naye mu bano abaabalibwa temwalimu musajja n’omu ku abo abaali babaliddwa Musa ne Alooni kabona bwe baabala abaana ba Isirayiri mu Ddungu lya Sinaayi.

65 Kubanga Mukama Katonda yali agambye abaana ba Isirayiri abo nti awatali kubuusabuusa bonna bagenda kufiira mu ddungu. Era tewali n’omu eyasigalawo nga mulamu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.

Ler em outra tradução

Comparar lado a lado