Números 24

LUG

1 Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama Katonda asiimye okuwa Isirayiri omukisa, n’ataddayo kunoonya bya bulaguzi, nga bwe yakola ku mirundi emirala, naye n’ayolekeza amaaso ge eddungu.

2 Balamu n’alengera ewala, n’alaba Isirayiri gye yasiisira ng’ebika bwe byali, n’ajjirwa Omwoyo wa Katonda,

3 n’alagula nti,

4 okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda

5 “Eweema zo nga nnungi, Ayi Yakobo,

6 “Byeyaliiridde ng’ebiwonvu,

7 Amazzi ganaakulukutanga mu bulobo bwabwe; ne gabooga

8 “Katonda ye yabaggya mu Misiri

9 Ng’empologoma ensajja, beekulula ne bagalamira wansi,

10 Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira ku Balamu. N’akuba mu ngalo omulundi gumu, n’amugamba nti, “Nakuyita okolimire abalabe bange, naye obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule.

11 Kale nno situka oddeyo ewammwe! Nagamba nti nnandikuwadde ebitiibwa bingi, naye Mukama akuziyizza okuweebwa ebitiibwa ebyo.”

12 Balamu n’agamba Balaki nti, “Ababaka bo be wantumira, saabagamba nti,

13 ‘Balaki ne bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde zaabu ne ffeeza, sigenda kusukka kiragiro kya Mukama ne nkola ekyange ku bwange oba nga kirungi oba nga kibi, wabula nga ndyogera ebyo byokka Mukama by’alindagira okwogera?’

14 Kaakano nno nzirayo ewaffe mu bantu bange, naye wuliriza nga nkulabula abantu bano kye balikola abantu bo mu nnaku ezijja.”

15 N’alagula bw’ati nti,

16 okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda,

17 “Mmulaba, naye si kaakano;

18 Edomu aliwangulwa;

19 Omufuzi alisituka ng’ava mu Yakobo

20 Balamu n’alaba Amaleki, n’alagula nti,

21 N’alaba Abakeeni, n’alagula nti:

22 naye era mmwe Abakeeni mugenda kuzikirizibwa

23 Ate n’alagula nti,

24 Ebyombo birijja nga biva ku mbalama za Kittimu;

25 Awo Balamu n’asituka n’addayo ewaabwe, ne Balaki n’akwata agage.

Ler em outra tradução

Comparar lado a lado