1 Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nti,
2 “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Wandiika ku muzingo ebigambo byonna bye njogedde naawe.
3 Ennaku zijja, lwe ndikomyawo abantu bange Isirayiri ne Yuda okuva mu busibe, mbazzeeyo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe babeere omwo,’ bw’ayogera Mukama.”
4 Bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebikwata ku Isirayiri ne Yuda nti,
5 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
6 Mubuuze mulabe.
7 Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo!
8 “ ‘Olulituuka ku lunaku olwo,
9 Wabula, bajja kuweerezanga Mukama Katonda waabwe
10 “ ‘Noolwekyo totya, ggwe Yakobo omuweereza wange,
11 Ndi wamu nammwe
12 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
13 Tewali n’omu wa kukuwolereza,
14 Abakuyamba bonna bakwerabidde
15 Lwaki okaaba olw’ekiwundu kyo,
16 “ ‘Naye bonna abakumira nabo baliriibwa,
17 Naye ndikuzzaawo owone,
18 “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
19 Mu bo mulivaamu ennyimba ez’okwebaza
20 Abaana baabwe baliba nga bwe baali mu nnaku ez’edda,
21 Omukulembeze waabwe aliba omu ku bo;
22 ‘Noolwekyo munaabeeranga bantu bange,
23 Laba, omuyaga gwa Mukama
24 Obusungu bwa Mukama obubuubuuka