1 Awo Zofali Omunaamasi n’ayogera nti,
2 “Ebigambo ebyo byonna bisigale nga tebiddiddwamu?
3 Okwogera kwo okutaliimu kunaatusirisa?
4 Ogamba Katonda nti, ‘Ebirowoozo byange tebirina nsobi,
5 Naye, singa Katonda ayogera,
6 n’akubikkulira ebyama by’amagezi;
7 “Osobola okupima ebyama bya Katonda?
8 Bigulumivu okusinga eggulu, kiki ky’osobola okukola?
9 Obuwanvu bwabyo businga ensi
10 “Singa ajja n’akusibira mu kkomera era n’atuuza olukiiko,
11 Mazima ddala amanya abantu abalimba.
12 Naye omuntu omusirusiru, talifuna magezi,
13 “Naye bw’owaayo omutima gwo gy’ali,
14 singa oggyawo ekibi ekiri mu mukono gwo,
15 olwo onoositula omutwe n’obwenyi bwo nga tokwatibwa nsonyi,
16 Mazima ddala ojja kwerabira emitawaana gyo,
17 Obulamu bujja kwaka okusinga omusana ogw’omu ttuntu,
18 Olibeera munywevu, kubanga olibeera n’essuubi;
19 Oligalamira nga tewali n’omu akutiisa,
20 Naye amaaso g’abakozi b’ebibi galiremererwa,