1 Mu nnaku ezo Keezeekiya n’alwala nnyo, katono afe. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Teekateeka ennyumba yo, kubanga togenda kulama, ogenda kufa.”
2 Awo Keezeekiya n’akyuka n’atunuulira ekisenge n’asaba ne yeegayirira Mukama
3 ng’agamba nti, “Jjukira kaakano, Ayi Mukama, nkwegayiridde, engeri gye natambuliranga mu maaso go n’amazima n’omutima ogutuukiridde, ne nkola ebisaanidde mu maaso go.” Era Keezeekiya n’akaaba nnyo amaziga.
4 Awo Ekigambo kya Katonda ne kijja eri Isaaya,
5 nga Mukama agamba nti, “Genda ogambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti, Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba nzija kwongera ku nnaku zo emyaka kkumi n’ettaano.
6 Era ndikuwonya ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli: Era ndikuuma ekibuga kino.
7 “ ‘Era kano ke kabonero k’onoofuna okuva eri Mukama nti Mukama alikola ekigambo ky’ayogedde.
8 Laba nzija kuzza emabega ekisiikirize ebigere kkumi enjuba bw’eneeba egwa, ky’eneekola ku madaala kabaka Akazi ge yazimba.’ ” Bw’etyo enjuba n’edda emabega ebigere kkumi.
9 Awo Keezeekiya Kabaka wa Yuda bwe yassuuka, n’awandiika ebigambo bino;
10 nayogera nti, “Mu maanyi g’obulamu bwange
11 Ne ndyoka njogera nti,
12 Obulamu bwange buzingiddwako
13 Ekiro kyonna nakaabanga olw’obulumi
14 Nakaabanga ng’akasanke oba akataayi,
15 Naye ate nga naagamba ki?
16 Ayi Mukama, olw’ebyo, abantu babeera abalamu,
17 Ddala laba okulumwa ennyo bwe ntyo kyali ku lwa bulungi bwange,
18 Kubanga tewali n’omu mu nsi y’abafu ayinza kukutendereza,
19 Akyali omulamu,
20 Mukama alindokola,
21 Isaaya yali agambye nti, “Baddire ekitole ky’ettiini bakisiige ku jjute, liwone.”
22 Kubanga Keezeekiya yali abuuzizza nti, “Kabonero ki akalaga nga ndiwona ne ntuuka okulagako mu nnyumba ya Mukama?”