1 Edda, Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe mu ngeri nnyingi ez’enjawulo ng’ayita mu bannabbi;
2 naye mu nnaku zino ez’oluvannyuma yayogera naffe ng’ayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi n’ebintu byonna ebirimu.
3 Amasamasa n’ekitiibwa kya Katonda, era ky’ekifaananyi kye ddala bw’ali, era abeezaawo buli kintu olw’ekigambo kye eky’amaanyi. Bwe yamala okukola ekikolwa eky’okututukuza okuva mu bibi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obw’omu ggulu.
4 Bw’atyo n’asinga bamalayika, nga kyeragira ku linnya lye okuba ery’ekitiibwa okusinga amannya gaabwe.
5 Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti,
6 Era nate bw’aleeta Omwana we omubereberye mu nsi, agamba nti,
7 Era ayogera ku bamalayika nti,
8 Naye ku Mwana ayogera nti,
9 Wayagala obutuukirivu n’okyawa obujeemu.
10 Ayongera n’agamba nti,
11 Ebyo biriggwaawo, naye ggwe olibeerera emirembe gyonna,
12 Era olibizingako ng’ekooti bwe zingibwako,
13 Ani ku bamalayika gwe yali agambye nti,
14 Bamalayika bonna, myoyo egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi.