1 Awo Yakobo n’ayita batabani be n’abagamba nti, Mukuŋŋaane, ndyoke mbategeeze ebiribabaako mu nnaku ezijja.
2 Mukuŋŋaane muwulire, mwe abaana ba Yakobo,
3 Lewubeeni ggwe mubereberye wange,
4 Naye tafugika, oli ng’amayengo g’ennyanja, naye tokyali wa kitiibwa,
5 Simyoni ne Leevi baaluganda,
6 Ayi omwoyo gwange teweetaba mu kuteesa kwabwe.
7 Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi;
8 Yuda gwe baganda bo banaakutenderezanga.
9 Yuda, mwana w’empologoma.
10 Era omuggo gw’omufuzi teguuvenga wakati wa bigere bya Yuda,
11 Alisiba endogoyi ku muzabbibu,
12 Amaaso ge galimyuka wayini,
13 Zebbulooni alibeera ku mabbali ga nnyanja;
14 Isakaali ndogoyi ya maanyi,
15 yalaba ng’ekifo ky’okuwummuliramu kirungi;
16 Ddaani anaalamulanga mu bwenkanya abantu be
17 Ddaani anaaba musota mu kkubo,
18 Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama.
19 Gaadi alirumbibwa ogubiina gw’abanyazi,
20 Aseri emmere ye eneebanga ngimu,
21 Nafutaali mpeewo ya ddembe,
22 Yusufu lye ttabi eribala ennyo,
23 Abalasa obusaale baamulumba bubi nnyo,
24 naye omutego gwe ne gunywera,
25 olwa Katonda wa kitaawo, akuyamba,
26 Omukisa gwa kitaawo
27 Benyamini musege ogunyaga,
28 Ebyo byonna by’ebika ekkumi n’ebiriri ebya Isirayiri, era ebyo kitaabwe bye yayogera nabo ng’abasabira omukisa. Buli omu ng’amusabira omukisa ogumusaanira.
29 Oluvannyuma n’abakuutira n’abagamba nti, “Nditwalibwa eri abantu bange gye baatwalibwa. Munziikanga wamu ne bajjajjange, mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti,
30 mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, okumpi ne Mamule, mu nsi ya Kanani, Ibulayimu gye yagulira mu nnimiro, okuva ku Efulooni Omukiiti. Yagigula okuba obutaka bw’okuziikangamu.
31 Awo we waaziikibwa Ibulayimu ne Saala mukazi we, era ne Isaaka ne Lebbeeka mukazi we, we baaziikwa, era awo we naziika Leeya.
32 Ennimiro n’empuku erimu byagulibwa okuva ku baana ba Kesi.”
33 Yakobo bwe yamala okukuutira batabani be, n’azaayo ebigere bye mu kitanda, n’assa omukka ogw’enkomerero n’afa n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be.