Gênesis 36

LUG

1 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, ye Edomu.

2 Esawu yawasa abakazi ng’abaggya mu Bakanani: Yawasa Ada muwala wa Eroni Omukiiti, ne Okolibama muwala wa Ana mutabani wa Zibyoni Omukiivi,

3 ne Basimansi muwala wa Isimayiri muganda wa Nebayoosi.

4 Ada n’azaalira Esawu Erifaazi, ne Basimansi n’azaala Leweri;

5 ne Okolibama n’azaala Yewusi, ne Yalamu ne Koola; abo be batabani ba Esawu abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani.

6 Awo Esawu n’atwala bakazi be, ne batabani be, ne bawala be n’abantu be bonna, n’ente ze, awamu n’ebintu bye byonna bye yafuna mu nsi ya Kanani; n’agenda mu nsi ey’ewala ku ya muganda we Yakobo.

7 Kubanga obugagga bwabwe bwali bungi nnyo nga tebukyabasobozesa kubeera wamu n’ensi mwe baali ng’ebafundiridde olw’obungi bw’ebisolo byabwe.

8 Olwo ye Esawu, era ye Edomu, n’abeera mu nsi ey’ensozi za Seyiri.

9 Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, kitaawe w’Abaedomu abaamuzaalirwa ng’ali mu nsi y’ensozi za Seyiri.

10 Batabani be baali:

11 Batabani ba Erifaazi baali

12 Timuna yali mukazi wa Erifaazi, mutabani wa Esawu era yamuzaalira Ameleki. Abo be batabani ba Ada mukazi wa Esawu.

13 Bano be batabani ba Leweri:

14 N’abaana ba Okolibama muwala wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, baali

15 Bano be bakulu b’enda ya Esawu:

16 ne Koola, ne Gatamu ne Amaleki abaali mu nsi ya Edomu be batabani ba Ada.

17 Enda ya Leweri mutabani wa Esawu:

18 Abaazaalibwa Okolibama mukazi wa Esawu, muwala wa Ana:

19 Abo bonna be baava mu Esawu, ye Edomu, era be bakulu b’enda zaabwe.

20 Batabani ba Seyiri Omukooli abaabeeranga mu Edomu be ba

21 ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Abo be baava mu Bakooli, be baana ba Seyiri abaali mu nsi ya Edomu.

22 Batabani ba Lotani baali

23 Batabani ba Sobali be ba

24 Aba Zibyoni, be ba

25 Abaana ba Ana be ba

26 Bo batabani ba Disoni be ba

27 Aba Ezeri be ba

28 Ate aba Disani be ba

29 Bano be bakulu b’enda za Bakooli:

30 ne Disoni, ne Ezeri ne Disani.

31 Bakabaka abafuga ensi ya Edomu, nga tewannaba na kabaka afuga Isirayiri be bano:

32 Bera mutabani wa Byori yafuga Edomu ng’asinziira mu kibuga kye Dinukaba.

33 Bera bwe yafa Yobabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’afuga mu kifo kye.

34 Yobabu bwe yafa Kusamu Omutemani n’afuga mu kifo kye.

35 Ne Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Midiyaani, mu nsi ya Mowaabu n’afuga mu kifo kye; ng’afugira mu kibuga ky’e Avisi.

36 Ate Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.

37 Samula bwe yafa Sawuli ow’e Lekobosi, ku mugga Fulaati n’afuga mu kifo kye.

38 Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.

39 Ate Balukanani mutabani wa Akubooli bwe yafa, Kadali n’afuga mu kifo kye, ng’ali mu kibuga kye Pawu; mukazi we yayitibwanga Meketaberu muwala wa Mezakabu ne Matirida.

40 Bano be bakulu b’enda zaabo abaava mu Esawu, nga bwe baali mu bifo byabwe:

41 ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni,

42 ne Kenazi, ne Temani, ne Mibuza,

43 ne Magidiyeri, ne Iramu.

Ler em outra tradução

Comparar lado a lado