1 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
2 “Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti: ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
3 kubanga olunaku luli kumpi,
4 Ekitala kirirumba Misiri,
5 Obuwesiyopya, ne Puuti, ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu n’abantu bonna ab’ensi ey’endagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri.
6 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
7 Balirekebwawo
8 Olwo balimanya nga nze Mukama
9 “ ‘Ku lunaku olwo ndiweereza ababaka mu byombo okutiisatiisa Obuwesiyopya buve mu bugayaavu bwabwo. Entiisa eribakwata ku lunaku Misiri lwe linakuwala, kubanga entiisa erina okujja.
10 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
11 Ye n’eggye lye, ensi esinga okuba enkambwe mu mawanga,
12 Ndikaza emigga gya Kiyira,
13 “ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
14 Ndifuula Pasulo okuba amatongo,
15 Ndifuka ekiruyi kyange ku Sini,
16 Ndikuma omuliro ku Misiri,
17 Abavubuka ab’e Oni n’ab’e Pibesesi
18 Enzikiza eriba ku Tapaneese emisana,
19 Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri,
20 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti,
21 “Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, n’okugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala.
22 Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnina ensonga ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era ndimenya emikono gye, omulamu ogw’amaanyi n’ogwo ogwamenyekako, ne nsuula ekitala okuva mu mukono gwe.
23 Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ennyingi.
24 Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni ne nteeka ekitala mu mukono gwe, naye ndimenya emikono gya Falaawo, era alisindira mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, ng’omuntu afumitiddwa anaatera okufa.
25 Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni, naye emikono gya Falaawo giriremala, balyoke bamanye nga nze Mukama. Nditeeka ekitala mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, n’akigololera ku nsi y’e Misiri.
26 Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbasaasaanya ne mu nsi yonna, era balimanya nga nze Mukama.”