1 Bino Mukama Katonda bye yandaga. Ne ndaba ekisero ekirimu ebibala ebyengedde.
2 Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?”
3 “Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “okuyimba kw’omu yeekaalu kulifuuka kukungubaga. Walibeerawo okufa okuyitirivu, emirambo nga gibunye wonna. Walibaawo akasiriikiriro.”
4 Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola,
5 nga mwogera nti,
6 mmwe abagula abaavu n’effeeza
7 Mukama yeeweredde amalala ga Yakobo ng’agamba nti, “Sigenda kwerabira bintu bye bakoze.
8 “Ensi terikankana olw’ekyo,
9 Mukama Katonda agamba nti,
10 Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga
11 “Ekiseera kijja,” bw’ayogera Mukama Katonda,
12 Abantu balibundabunda okuva ku nnyanja emu okudda ku ndala,
13 “Mu biro ebyo,
14 Abo abaalayira eby’ensonyi eby’e Samaliya