1 Batabani ba Leevi baali
2 Batabani ba Kokasi ne baba
3 Ate abaana ba Amulaamu baali
4 Eriyazaali n’azaala Finekaasi,
5 Abisuwa n’azaala Bukki,
6 Uzzi n’azaala Zerakiya,
7 Merayoosi n’azaala Amaliya,
8 Akitubu n’azaala Zadooki,
9 Akimaazi n’azaala Azaliya,
10 Yokanaani n’azaala Azaliya (oyo ye yaweerezanga nga kabona mu yeekaalu sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi);
11 Azaliya n’azaala Amaliya,
12 Akitubu n’azaala Zadooki,
13 Sallumu n’azaala Kirukiya,
14 Azaliya n’azaala Seraya,
15 Yekozadaki yatwalibwa mu buwaŋŋanguse Mukama bwe yawaayo Yuda ne Yerusaalemi mu mukono gwa Nebukadduneeza.
16 Batabani ba Leevi baali
17 Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusomu,
18 Batabani ba Kokasi baali
19 Batabani ba Merali baali
20 Abaava mu Gerusomu baali
21 ne Yowa,
22 Bazzukulu ba Kokasi baali
23 Erukaana muzzukulu we,
24 Takasi muzzukulu we, Uliyeri muzzukulu we, Uzziya muzzukulu we, ne Sawuli muzzukulu we.
25 Batabani ba Erukaana baali
26 ne bazzukulu be nga be ba Erukaana, ne Zofayi,
27 ne Eriyaabu,
28 Batabani ba Samwiri baali
29 Bazzukulu ba Merali baali
30 ne Simeeyi, ne Kaggiya
31 Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulira eby’ennyimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng’eteekeddwamu.
32 Baaweererezanga mu nnyimba mu maaso g’ekuŋŋaaniro ey’Eweema ey’Okusisikanirangamu, okutuusa Sulemaani lwe yazimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi. Era bakolanga emirimu gyabwe, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa.
33 Bano be basajja abaaweerezanga, wamu ne batabani baabwe:
34 muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yerokamu,
35 muzzukulu wa Zufu, muzzukulu wa Erukaana,
36 muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yoweeri,
37 muzzukulu wa Takasi, muzzukulu wa Assiri,
38 muzzukulu wa Izukali, muzzukulu wa Kokasi,
39 Kemani yalina muganda we Asafu eyamuyambangako mu mulimu ogwo, era n’ab’enju ye baali bwe bati:
40 muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Baaseya,
41 muzzukulu wa Esuni,
42 muzzukulu wa Esani, muzzukulu wa Zimma,
43 muzzukulu wa Yakasi,
44 Ne baganda be abalala abaamuyambangako baali abazzukulu ba Merali, mutabani wa Leevi,
45 muzzukulu wa Kasukabiya,
46 muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Bani,
47 muzzukulu wa Makuli,
48 Baganda baabwe Abaleevi baavunaanyizibwanga okukola emirimu gyonna egy’omu Weema, ye Nnyumba ya Katonda.
49 Naye Alooni ne batabani be ne bazzukulu be, be baawangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky’okwoterezangako obubaane olw’ebyo byonna ebyakolebwanga mu Kifo ekisinga Obutukuvu, olw’okutangirira Isirayiri, nga Musa, omuddu wa Katonda bwe yalagira.
50 Bano be baava mu nda ya Alooni:
51 muzzukulu we Bukki,
52 muzzukulu we Merayoosi, muzzukulu we Amaliya,
53 muzzukulu we Zadooki,
54 Bino by’ebifo ebyabaweebwa okutuulamu ng’ensi yaabwe era bino bye byali biweereddwa bazzukulu ba Alooni Abakokasi, kubanga be baasooka okufuna omugabo.
55 Baaweebwa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n’amalundiro agakyetoolodde,
56 naye ennimiro n’ebyalo ebyetoolodde ekibuga ekyo, byaweebwa Kalebu mutabani wa Yefune.
57 Bazzukulu ba Alooni baaweebwa Kebbulooni, ekibuga eky’okwekwekamu, Libuna n’amalundiro gaakyo,
58 Kireni n’amalundiro gaakyo, Debiri n’amalundiro gaakyo,
59 Asani n’amalundiro gaakyo, ne Besusemesi n’amalundiro gaakyo.
60 Ate n’okuva eri ekika kya Benyamini baaweebwa Gibyoni ne Geba, ne Allemesi, ne Anasosi wamu n’amalundiro gaabyo. Ebibuga byonna awamu ebyaweebwa Abakokasi byali kkumi na bisatu.
61 Bazzukulu ba Kokasi abalala baweebwa ebibuga kkumi okuva ku nda ez’ekitundu ky’ekika kya Manase nga bakuba akalulu.
62 Bazzukulu ba Gerusoni, ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva ku bika bya Isakaali, Aseri, Nafutaali, n’okuva ku kika kya Manase mu Basani.
63 Bazzukulu ba Merali ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva ku bika bya Lewubeeni, Gaadi ne Zebbulooni.
64 Awo Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga ebyo ne babaweerako n’amalundiro byabyo.
65 N’ebibuga okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini ebyogeddwako byabaweebwa nga bakuba akalulu.
66 Enda ezimu eza Kokasi zaaweebwa ebibuga okuva eri ensi y’ekika kya Efulayimu.
67 Okuva eri ensi ya Efulayimu baaweebwa Sekemu, ekibuga ky’obuddukiro, Gezeri,
68 ne Yokumyamu, ne Besukolooni,
69 ne Ayalooni ne Gasulimmoni, n’amalundiro gaabyo.
70 N’okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase, Abayisirayiri ne babagabira Aneri ne Biryamu, wamu n’amalundiro byako eri enda ezaali zisigaddewo eza Kokasi.
71 Abagerusomu baaweebwa ebifo bino wansi:
72 Okuva eri ekika kya Isakaali baafuna Kedesi, Daberasi
73 Lamosi ne Anemu wamu n’amalundiro gaabyo (byako);
74 okuva eri ekika kya Aseri, baafuna Masali, Abudoni,
75 Kukkoki ne Lekobu wamu n’amalundiro gaabyo;
76 n’okuva eri ekika kya Nafutaali baafuna Kedesi eky’omu Ggaliraaya, ne Kammoni ne Kiriyasayimu wamu n’amalundiro byako.
77 Abaleevi abaali basigaddewo, be bazzukulu ba Merali, baaweebwa ebifo bino wansi:
78 okuva eri ekika kya Lewubeeni, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’e Yeriko, baafuna Bezeri ekiri mu ddungu, Yaza,
79 Kedemosi ne Mefaasi wamu n’amalundiro byabyo;
80 n’okuva eri ekika kya Gaadi baafuna Lamosi ekiri mu Gireyaadi, Makanayimu,
81 Kesuboni ne Yazeri wamu n’amalundiro byabyo.