1 Bazzukulu ba Yuda abalala baali
2 Leyaya mutabani wa Sobali n’azaala Yakasi, ne Yakasi n’azaala Akumayi ne Lakadi. Bano baali ba mu nnyumba ya Abazolasi.
3 Ne bano, be baali baganda ba Etamu,
4 Penueri n’azaala Gedoli, ne Ezeri n’azaala Kusa.
5 Asukuli n’azaala Tekowa eyalina abakyala babiri omu nga ye Keera omulala nga ye Naala.
6 Naala n’amuzaalira Akuzzamu, ne Keferi, ne Temeni ne Kaakusutali; era abo be baali abaana ba Naala.
7 Keera n’amuzaalira
8 ne Kakkozi eyali kitaawe wa Anubu, ne Zobeba, ate n’aba jjajja w’ennyumba ya Akalukeri mutabani wa Kalumu.
9 Yabezi yali wa kitiibwa okusinga baganda be, ne nnyina n’amutuuma erinnya Yabezi amakulu nti, “Namuzaalira mu bulumi.”
10 Yabezi n’akoowoola Katonda wa Isirayiri ng’agamba nti, “Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange! Omukono gwo gubeere wamu nange, gunkuume obutagwa mu kabi konna, nneme okulumwa mu mutima.” Katonda n’addamu okusaba kwe.
11 Kerubu muganda wa Suwa, n’azaala Mekiri, ate nga kitaawe wa Esutoni.
12 Esutoni n’azaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina eyali omukulembeze wa Irunakasi. Bano be basajja ab’e Leka.
13 Batabani ba Kenazi baali
14 Myonosaayi n’azaala Ofula.
15 Batabani ba Kolebu mutabani wa Yefune baali
16 Batabani ba Yekalereri baali
17 Batabani ba Ezula baali
18 Abo be baana ba muwala wa Falaawo Bisiya, Meredi gwe yali awasizza.
19 Kodiya n’azaala abaana mu mwannyina wa Nakamu
20 Batabani ba Simoni baali
21 Batabani ba Seera mutabani wa Yuda baali
22 Yokimu ye yali jjajja w’abasajja ab’e Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga Mowaabu ne Yasubirekemu. (Ebigambo bino bya mu biseera bya dda).
23 Abo be baali ababumbi b’ensuwa abaabeeranga e Netayimu n’e Gedera, era baabeeranga mu lubiri lwa kabaka nga bamukolera.
24 Batabani ba Simyoni baali
25 Mutabani wa Sawuli yali Sallumu, ne bazzukulu be nga be Mibusamu ne Misuma.
26 Mutabani wa Misuma yali
27 Simeeyi yalina abaana aboobulenzi kumi na mukaaga n’aboobuwala mukaaga, naye baganda be tebalina baana bangi, ekika kyabwe kyekyava tekyala nnyo ng’ekya Yuda.
28 Babeeranga mu Beeruseba, ne Molada, ne Kazalusuwali,
29 ne Biruka, ne Ezemu, ne Toladi,
30 ne Besweri, ne Koluma, ne Zikulagi,
31 ne Besumalukabosi, ne Kozalususimu, ne Besubiri ne Saalayimu. Bino byali bibuga byabwe okutuusa Dawudi lwe yalya obwakabaka.
32 Ebyalo byabwe ebirala byali Etamu, ne Ayini, ne Limmoni, ne Tokeni ne Asani, byonna awamu by’ebitaano,
33 n’ebyalo ebirala byonna ebyali byetoolodde ebibuga ebyo okutuukira ddala e Baali.
34 Mesobabu, ne Yamulaki,
35 ne Yoweeri,
36 Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya,
37 ne Ziza mutabani wa Sifi muzzukulu wa Alooni, muzzukulu wa Yedaya, muzzukulu wa Simuli, muzzukulu wa Semaaya.
38 Abo aboogeddwako baali bakulu ba bika byabwe.
39 Be basenguka okwolekera omulyango gwa Gedoli ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’ekiwonvu, nga banoonya aw’okulundira ebisibo byabwe.
40 Baalaba omuddo omugimu omulungi, n’ensi yali ngazi, ng’erimu emirembe era nga nteefu. Bazzukulu ba Kaamu be baaberangamu edda.
41 Abasajja abo aboogeddwako baaliwo mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, era baalumba eweema za bazzukulu ba Kaamu n’Abamewuni abaabeeranga omwo ne babazikiririza ddala, obutalekaawo muntu n’omu wadde ekintu kyonna. Ne babeeranga omwo kubanga waaliyo omuddo ogw’okuwa ebisibo byabwe.
42 Awo abamu ku batabani ba Simyoni, abasajja enkumi ttaano nga bakulembeddwamu Peratiya, ne Neyaliya, ne Lefaya ne Wuziyeeri batabani ba Isi ne balumba Seyiri ensi ey’ensozi.
43 Era baazikiriza n’ekitundu ky’Abamaleki ekyali kisigaddewo, oluvannyuma ne basenga eyo, okutuusa olunaku lwa leero.