1 Ebibinja eby’abazzukulu ba Alooni nga bwe bagabanyizibwamu byali bwe biti:
2 Naye Nadabu ne Abiku baasooka kitaabwe okufa, ate nga baafa tebazzadde baana. Eriyazaali ne Isamaali kyebaava baawulibwa era ne batandika okukola omulimu ogw’obwakabona.
3 Dawudi ng’ayambibwako Zadooki muzzukulu wa Eriyazaali, ne Akimereki muzzukulu wa Isamaali, yabaawulamu ebibinja nga bwe baalondebwa mu kuweereza kwabwe.
4 Kyazuulibwa nga abakulembeze mu bazzukulu ba Eriyazaali baali bangi okusinga abazzukulu ba Isamaali, bwe bati bwe bagabanyizibwamu: mu bazzukulu ba kkumi na mukaaga, okuba abakulu b’ennyumba ne ku bazzukulu ba Isamaali munaana okuba abakulu b’ennyumba.
5 Baabagabanyamu nga bakubye obululu, kubanga waaliwo abakungu abamu nga ba mu kifo ekitukuvu, n’abalala nga bakungu ba Katonda naye nga bonna bazzukulu ba Eriyazaali ne Isamaali.
6 Semaaya Omuwandiisi, mutabani wa Nesaneri, Omuleevi, n’awandiikira amannya gaabwe mu maaso ga kabaka n’abakungu nga Zadooki kabona, ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali, n’abakulu b’ennyumba za bakabona, n’Abaleevi, ennyumba emu ng’eronderwa Eriyazaali, n’endala ng’eronderwa Isamaali.
7 Akalulu akaasooka kaagwa ku Yekoyalibu,
8 n’akokusatu ku Kalimu,
9 n’akookutaano ku Malukiya,
10 n’ak’omusanvu ku Kakkozi,
11 n’ak’omwenda ku Yesuwa,
12 n’ak’ekkumi n’akamu ku Eriyasibu,
13 n’ak’ekkumi noobusatu ku Kuppa,
14 ak’ekkumi noobutaano ku Biruga,
15 n’ak’ekkumi n’omusanvu ku Keziri,
16 n’ak’ekkumi n’omwenda ku Pesakiya,
17 ak’amakumi abiri mu kamu ku Yakini,
18 n’ak’amakumi abiri mu busatu ku Deraya,
19 Kuno kwe kwali okulondebwa kw’obuweereza bwabwe, bwe baayingiranga mu yeekaalu ya Mukama, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa jjajjaabwe Alooni, nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira.
20 Bazzukulu ba Leevi abalala baali:
21 Ku ba Lekabiya, Issiya ye yali omuggulanda.
22 Ku Bayizukaali Seromosi,
23 Ku batabani ba Kebbulooni,
24 Mutabani wa Winziyeeri, ye yali Mikka;
25 Muganda wa Mikka ye yali Issiya,
26 Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi.
27 Batabani ba Merali,
28 Okuva ku Makuli, Eriyazaali, ataazaala baana babulenzi.
29 Okuva ku Kiisi, yali mutabani we Yerameeri.
30 Ne ku batabani ba Musi, Makuli, ne Ederi ne Yerimosi.
31 Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu, nga baganda baabwe bazzukulu ba Alooni bwe baakola, mu maaso ga Kabaka Dawudi, ne Zadooki, ne Akimereki, n’abakulu b’ennyumba za bakabona n’Abaleevi. Ennyumba ya muganda waabwe omukulu yayisibwanga mu ngeri y’emu ng’ey’omuto.