1 Crônicas 16

LUG

1 Awo ne baleeta essanduuko ya Mukama, ne bagiyingiza mu weema Dawudi gye yali agisimbidde, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe eri Katonda.

2 Awo Dawudi bwe yamala okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, n’asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama,

3 era n’agabira buli Muyisirayiri omusajja n’omukazi, omugaati n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, n’ekiyungula ky’ennyama.

4 Yalonda abamu ku Baleevi okuweerezanga mu maaso g’essanduuko ya Mukama, okukoowoola nga basaba, nga beebaza, era nga batendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri.

5 Asafu ye yali omukulu waabwe, Zekkaliya n’amuddirira, Yeyeeri n’addako, n’oluvannyuma Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeri, abookukuba entongooli n’ennanga, Asafu ye ng’akuba ebitaasa.

6 Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga amakondeere bulijjo mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Katonda.

7 Awo ku lunaku olwo, Dawudi n’alagira Asafu n’abantu be yakolanga nabo, basooke okwebaza Mukama nga bagamba nti:

8 Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye,

9 Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza

10 Erinnya lye ligulumizibwe,

11 Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge;

12 Mujjukire ebyewuunyo by’akoze,

13 mmwe abazzukulu ba Isirayiri, abaweereza be,

14 Ye Mukama Katonda waffe;

15 Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,

16 gye yakola ne Ibulayimu,

17 N’aginyweza ng’etteeka eri Yakobo,

18 ng’agamba nti, “Ndikuwa ensi ya Kanani, ng’omugabo, ogw’obusika bwo.”

19 Omuwendo gwabwe bwe gwali omutono,

20 baatambulatambulanga okuva mu nsi emu okudda mu ndala,

21 Teyaganya muntu n’omu kubanyigiriza;

22 ng’agamba nti, “Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta,

23 Muyimbire Mukama, mmwe ensi zonna;

24 Mubuulire ekitiibwa kye mu mawanga,

25 Mukama mukulu era asaanira okutenderezebwa;

26 Bakatonda bonna abamawanga bifaananyi,

27 Ekitiibwa n’obukulu biri mu maaso ge,

28 Mugulumize Mukama, mmwe ebika eby’amawanga byonna,

29 Muyimusize Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye;

30 Mukankane mu maaso ge ensi yonna,

31 Eggulu lisanyuke, n’ensi ejaguze;

32 Ennyanja ewuume, n’ebigirimu byonna,

33 Awo emiti egy’omu kibira ginaayimba,

34 Weebaze Mukama kubanga mulungi;

35 Mwogerere waggulu nti, “Tulokole, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;

36 Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri

37 Awo Dawudi n’aleka Asafu n’ababeezi be, okuweereza Mukama mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama, nga bwe kyagwaniranga buli lunaku.

38 Obededomu n’ababeezi be enkaaga mu omunaana nabo yabaleka baweereze eyo. Obededomu mutabani wa Yedusuni, era ne Kosa be baali abaggazi.

39 Dawudi yaleka Zadooki, kabona ne bakabona banne mu maaso g’eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu e Gibyoni

40 okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, buli nkya na buli kawungeezi, nga byonna bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yawa Isirayiri.

41 Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo.

42 Era Kemani ne Yedusuni baavunaanyizibwanga okufuuwa amakondeere, n’okukuba ebitaasa, n’okukubira ebivuga ebirala ku luyimba lwa Katonda. Batabani ba Yedusuni baabeeranga ku wankaaki.

43 Awo abantu bonna ne baddayo ewaabwe, ne Dawudi n’addayo okusabira ennyumba ye omukisa.

Ler em outra tradução

Comparar lado a lado